
Rhapsody Global Club ( Mandate 1B ROR Influences )
March 1, 2025 at 05:08 PM
Rhapsody Luganda
Sun Mar 02 2025
WEYONGERE OKUTEGEERA KRISTO OYO ALI MUGGWE
Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'eky'oyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima. (Yokaana 1:14).
Bwetugamba nti Omukristaayo ye muntu oyo Kristo mwatuula,ekizibu kiri nti abantu sibangi abamanyi ne Kristo kyekitegeeza oba kiki Kristo kyali.Ekigambo Kristo kitegeeza ki ? Kristo kigambo mu Lubebulaniya ekitegeeza Masiya era nga n’ekigambo kino Masiya kitegeeza oyo eyafukibwako amafuta.Mu Endagano Enkadde,bamuyitanga Masiya naye mu Endagano Empya ayitiibwa Kristo,naye nga bonna babeera bogeera ku muntu y’omu
Abayudaya gwe bali bategeera nga Masiya y’oyo nabbi Danyeri gwe yayita ‘’Omwana w’omuntu.’’ Ne Mukama waffe Yesu bwe yeyogerako nga ‘’Omwana w’omuntu’’ eyali ‘’ow’okuwanikiibwa’’ ekitegeeza okukomererwa,Abayudaya bamubuuza nga bagamba, ‘’Omwana w’omuntu ono yani?’’ Bo bali bamanyi nti Kristo yali wakubeerawo luberera.Baibuli egamba mu Yokaana 12:23,32-34: ‘’.. Yesu n'abaddamu, n'agamba nti Obudde butuuse, Omwana w'omuntu agulumizibwe….Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira gye ndi bonna…Naye yayogera atyo, ng'alaga okufa bwe kuli kw'agenda okufa.Awo ekibiina ne kimuddamu nti Tetwawulira mu mateeka nti Kristo abeerera awo emirembe n'emirembe: naawe kiki ekikugambya nti Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa? Ono Omwana w'omuntu ye ani?’’ Mukama waffe Yesu yali ajjuliza bunabbi bwa Danyeri era kino kyali kikwatagana burungi babwo.
Ekigambo omwana w’omuntu kunyonyola kwa mwana wa Katonda.Naye era ekigambo mwana wa Katonda tekitegeeza oyo ‘’azaalibwa Katonda.’’ Wabula kitegeeza Katonda mu mubiri gw’omuntu.Era eno yeyali ensonga lwaki Mukama waffe Yesu bweyagamba nti yali mwana wa Katonda,abakulembeze b’Abayudaya bamuvunana kyakuvoola.Bagamba, ‘’ Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.’’ (Yokaana 10:33). Bakkitgeera burungi nti Masiya ono,Katonda ali mu mubiri,oyo Mukama waffe Yesu nti gweyali agaezaako okweyita nti kyali.
Bw’ogamba nti Yesu ye Kristo,obeera otegeeza nti Yesu ye Katonda alabikidde mu mubiri.Ekyo no y’ensonga lwaki bamukomerera.Ekyo tokyelabira nga. Omurundi omulala,nga Makko 14:61-64 bwetugamba,Kabona omukulu bweyamubuuza ekibuuzo obuterevu nti ‘’Kale ggwe Kristo?’’ era Mukama waffe Yesu namuddamu nga akakasa,Kabona omukulu yayuuza ekyambalo kye,era n’agamba nti yali avvoodde.Era eky’okukattiriza nti ye Kristo kyavilako Mukama waffe Yesu okusalirwa ogw’okufa.Naye Mukama waffe Yesu yali mutufu.Eky’amazima ye yali Kristo.
Masiya oba Kristo ye Katonda mu mubiri.Era bwewafuna Kristo,obulamu bwe obw’obwakatonda bwasikira obulamu bwo obw’obuntu era bwebutyo ne bulabisibwa mu ggwe. Wafuuka omuntu alina Kristo munda. Abakkolosaayi 1:27 egamba, ‘’…Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa’’ Kino ky’ekitiibwa n’amakulu g’Obukristaayo – Kristo muggwe! Weyongere okutegeera n’okutambulira mu kumanya kuno olwaleero,n’okusinga luli mu kusooka.
Prayer / Confession
Kitange omwagalwa,webale olw’okubikulirwa okw’ekyo Kristo kyali – Katonda alabise gyetuli mu mubiri.Nangirira nti Kristo atuula munze, era obulamu Bwe obw’obwakatonda bulabikira mu buli kitundu kya mubiri gwange.Ntambulira mu kumanya okuva mu mazima gano,nga ntukkiriza okuyitiibwa kwange era nga njoleesa ekitiibwa Kyo eri ensi,mu Linnya lya Yesu.Amiina.
Further study
Abakkolosaayi 1:26-27; Yokaana 1:14 NIV; 1 Timoseewo 3:16
1-year bible reading plan
Makko 9:33-50 & Okubala 9-10
2-year bible reading plan
Matayo 19:13-22 & Okuva 11
WhatsApp Chanel for rhapsody Translation :
https://whatsapp.com/channel/0029Va9SJ9OHFxP0Xh4KCN3F