Rhapsody Global Club ( Mandate 1B ROR Influences )
Rhapsody Global Club ( Mandate 1B ROR Influences )
June 8, 2025 at 08:18 PM
Rhapsody Luganda Mon Jun 09 2025 AMAANYI AGALI MU OKWEWAAYO Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti Tulabye Kristo, amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Eyafukibwako amafuta. N'amuleeta eri Yesu (Yokaana 1:41-42). Mu mulimu guno ogw’okwongerayo obwakabaka bwa Katonda,abantu bano abamalirivu betagibwa era tulaba nga waaliyo abantu abafananako bwebati mu Baibuli,naddala mu Enjiri ya Yokaana.Bano tebali bagoberezi bugoberezi aba Mukama waffe Yesu Kristo wabula abantu abali bewadeeyo eri okutambuza n’okutwala mu maaso obuwereeza Bwe.Ebikolwa byabwe byayoleeka nga omulimu ogwenjawulo – okwewaayo okukyasinze. Eky’okulabirako,mu Yokaana 1:40-42,tulaba Andereya,om uku bayigirizwa ba Yokaana omubatiza nga y’omu ku bantu abaleeka byonna okugoberera Yesu. Andereya okubikulirwa kuno okuggya teyakwesigaliza nga ye yekka.Amangu ddala yagenda nasisinkana muganda we , Simooni (Peetero) era bwatyo namugamba ebigambo bino ‘’ Tulabye Kristo!’’ Era oluvanyuma yaleeta Peetero eri Yesu. Ebikolwa bya Andereya byoleeka omutima gw’omuntu eyewadeeyo – omuntu oyo ayongeraayo era awagira obuwereeza bwa Yesu okuyita mu kuyingiza abalala n’abo okwegata ku mugendo batandiike okukola omurimu gwa Yesu.Olunakku olwaddako,Mukama waffe Yesu yayita Firipo okumugoberera.Firipo naye era nga Andereya bweyakola,naye amawulire gano amarungi teyagesigaliza yekka.Yasisinkana Nassanayiri era namugamba, ‘’ Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi’’(Yokaana 1:45) Nassanayiri,okusooka mu kubusabusa,kyeyava abuuza, ‘’ Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi?’’ Okuddamu kwa Firipo kwali kwangu nnyoo,kyokka nga kw’amaanyi nnyoo,yagamba Nassanayiri, ‘’ Jjangu olabe.’’ (Yokaana 1:45-46). Gano ge maanyi ag’okwewaayo. Andereya ne Firipo tebakoma ku kyakugoberera Yesu,wabula era bakola nnyoo okuleeta abalala gyali.Bali lutindo eri Bayudaya banabwe era nabo bonna abali bagala Katonda,abo abasangibwa nga bakkiririza mu Katonda ,babaleeta eri omurimu gwa Kristo. Mu ngeri yemu,mu kutambuza n’okwongeerayo obwakabaka bwa Katonda olwaleero,twetaaga eggye eddene ddala ely’abantu ba Katonda abamalirivu,abalina okwagala era abatawanika mu kwewaayo kwabwe eri Enjiri.Tugenda kutukkiriza okubulira kw’Enjiri mu bujjuvu omwaka guno 2025.Beera muntu oyo eyewadeeyo eri omulimu guno! Yongeera okuleeta abalala okwegata ku mulimu guno nga bwetutukkiriza omulimu guno omukulu ogwatuweebwa. Kikulu nnyoo ffe okutegeera nti okusobola okuteekawo enkyuukakyuuka mu nsi,twetaaga eggye ly’Abakristaayo eliri awamu,buli omu nga akola kyatekeeddwa okukola mu kuzimba obwakabaka bwa Katonda,naddala wano nga okudda kwa Mukama waffe kusembedde. Prayer / Confession Kitange omwagalwa,webale olw’okunfula omulwanyi namige mu lutalo luno olw’okuzimba obwakabaka Bwo.Okuyita mu nze,bangi bayingira obwakabaka era begatta ku ggye lino eddene,nga tutukkiriza omulimu guno gw’otukwasiza era nga tukyuusa obulamu bw’abantu buli wamu.Ntambulira mu magezi n’amaanyi ag’Omwoyo,nga tweyongeera yongeera okutambuza amaanyi ag’obwakabaka,mu Linnya lya Yesu. Amiina. Further study Yokaana 1:40-42; Yokaana 4:28-30; 2 Timoseewo 2:2 1-year bible reading plan Ebikolwa by’abatume 1:1-26 & 2 Ebyomumirembe 1-4 2-year bible reading plan Makko 16:1-11 & Eky'amateeka olw'okubbiri 7 WhatsApp Chanel for rhapsody Translation : https://whatsapp.com/channel/0029Va9SJ9OHFxP0Xh4KCN3F

Comments