Rhapsody Global Club ( Mandate 1B ROR Influences )
Rhapsody Global Club ( Mandate 1B ROR Influences )
June 13, 2025 at 06:58 PM
Rhapsody Luganda Sat Jun 14 2025 AMAANYI AG’OKWOLEESEBWA N’OKULOWOOZA Yakobo n'addira obuti bw'omulibine omubisi, n'obw'omusakedi n'obw'omwalamoni; n'abusasambulako enguudo ezitukula… (Oluberyeberye 30:37). Olugero lwa Yakobo oluli mu Oluberyeberye 30 ne 31 kintu ekyewunyisa ekyoleeka amaanyi g’okwoleesebwa n’okufumitiriza ekintu. Yakobo bwe yakkiriza okukoleera Labbaani,yasubizibwa kuweebwamu bisolo byeyali alunda nga omusala ggwe.Kyokka Labbaani nga buli kiseera abeera yekyuusa era nga bwatyo bw’alyazamanya Yakobo.Naye Yakobo,okuyita mu magezi ga Katonda n’okubeera omukalabakalaba,yasobola okukyuusa embeera eno. Yakobo yafuna obuti bw'omulibine omubisi, n'obw'omusakedi n'obw'omwalamoni; n'abusasambulako enguudo ezitukula, n'alabisa obutukuvu obwali ku buti. Nakwata nateeka obuti buno bw'asasambudde mu maaso g'ebisibo ku mmanvu mu byesero eby'okunywesezaamu ebisibo we byajja okunywa.Ensolo zino bwe zawaka nga amawako nga zize okunywa nga ziri mu maaso g’obuti buno,z’azaala nga ezo zenyini Yakobo zeyali ayagala. Oluvanyuma Yakobo yali takyetaga buti.Yayawula mu baana abalibiwuuga n'ezabujagijagi n'ezabitanga n'atunuza amaaso g'ekisibo eri aba biwuuga, n'eri abaddugavu bonna ab'omu kisibo.Bweyakola bwati,ekisibo kino kyonna yakiwa ekifananyi,era zonna ne zitandiika okuzaala nga zigoberera ekifananyi kyezalaba nga. Enkola eno Yakobo gyeyakozesa yali elaga amaanyi amatonzi agali mu kwoleesebwa oba ekifananyi ekyo ky’olaba mundowoozayo.Yakozesa amaanyi g’ebilowoozo bye okukyuusa ebigenda okujja.Ezaalina amaanyi mu kisibo bwe zaawakanga, Yakobo n'ateeka obuti mu maaso g'ekisibo mu byesero, ziwakire awali obuti,akakase nti zizaala ezo ez’amaanyi,ez’olulyo olurungi olwegombesa. Naye ekisibo bwe kyabanga ekibi,nga kyazino ezitalina maanyi nga tabussayo,nabwekityo enaffu zabeera nga za Labbaani. Oluvanyuma lw’akaseera,ekisibo kya Yakobo kyeyongeera okufuuka eky’amaanyi era nga kyeyagaza wabula ekya Labbaani kyasigala nga kinafu.Obuwanguzi bwa Yakobo bwava mu kubikulirwa kwa Katonda.Mu kilooto, yalaba embuzi ennume ezaalinnyira ekisibo zaali za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo.Era malayika najja namukakasa kyeyali alabye mu kwoleseebwa,nga amugamba’’ Yimusa kaakaao amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo..’’ (Oluberyeberye 31:12). Kino nga kikulu nnyoo! Olina obusobozi okutonda ebiseera eby’omu maaso by’oyagala nga amaaso go n’essira obiteeka kwekyo ky’oyagala okulaba.Kola okwoleseebwa kwekyo ky’oyagala nga okozesa endowoozayo.Okuyita mu Kigambo n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu oyo akoleera mu ggwe,osobola okutonda oba okutereeza ebyo ebikwetoloodde.Halleluya! Prayer / Confession Kitange omwagalwa,webale olw’okumpa obusobozi obw’okulaba n’okutonda ebiseera eby’omu maaso byenjagala okuyita mu maanyi ag’okubeera n’okwoleseebwa era olw’Ekigambo Kyo.Nga nkozesa amaanyi gange ag’okufumitiriza,nga nungamazibwa Omwoyo Wo,ntereeza obulamu bwange mu kubbo ely’okwagala Kwo,omuli obuwanguzi n’okweyongeera yongeera mu buli kimu ekirungi. Mpereeddwa amaanyi okukyuusa ensi yange era n’okusobola okutukkiriza amagenda gange,mu Linnya lya Yesu.Amiina. Further study Oluberyeberye 13:14-17; Kaabakuuku 2:2; Abaefeeso 3:20 1-year bible reading plan Ebikolwa by’abatume 4:32-5:1-11 & 2 Ebyomumirembe 20-22 2-year bible reading plan Lukka 1:39-56 & Eky'amateeka olw'okubbiri 12 WhatsApp Chanel for rhapsody Translation : https://whatsapp.com/channel/0029Va9SJ9OHFxP0Xh4KCN3F

Comments