DAILY  CATHOLICS MASS READINGS
DAILY CATHOLICS MASS READINGS
June 7, 2025 at 05:36 AM
*WAMUNYI (LWAMUKAAGA), 07 SSEBAASEKA, 2025* *LWAMUKAAGA OLWA WIIKI EYOMUSANVU MU BW’AMAZUUKIRA: OMWAKA C.* *ESSOMO ERISOOKA* _Yasigala e Roma ng’ayigiriza Obwakabaka bwa Katonda._ *Bye tusoma mu Kitabo ky'Ebikolwa by’Abatume 28: 16-20, 30-31* Bwe twatuuka e Roma, Pawulo ye n’akkirizibwa okusula yekka, ng’alina omuserikale amukuuma. Ennaku ssatu bwe zaayitawo, n’ayita Abakulu b’Abayudaaya, ne bakuŋŋaana, n’abagamba nti: Ab’oluganda, nze newankubadde sirina kibi kye nnakolera ggwanga lyaffe, era nga siyonoonanga mu mayisa ga Bajjajjaffe, era nnasibirwa e Yeruzalimu, ne bansuula mu mikono gy’Abaroma. Bwe baamala okumbuuza, ne baagala okunta, kubanga nnali sirina musango gunzisa. Naye Abayudaaya ne bagulumbya empaka; ekyo kye kyansindika okujulira Kayisari. Sso si kugamba nti nnali nina kye nvunaana eggwanga lyange. Olw’ekyo nno kye nvudde njagala okubalaba n’okwogerako nammwe; kubanga essuubi lya Yisirayeli lye linsibizza olujegere luno. Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba mu nnyumba ye empangise, n’akyaza bonna abajjanga okumulaba, ng’alangirira Obwakabaka bwa Katonda, ng’ayigiriza eby’Amazima ebifa ku Yezu Kristu, nga bw’ayagala, awatali amukuba ku mukono. _Ebyo Omukama yabyogera._ *OLUYIMBA OLWOKWEBUULIRIRA: Zab. 11: 4, 5 & 7* _Ekiddibwamu: *Abatereevu baliraba Amaaso go, Ayi Mukama.*_ Omukama mu Kiggwa kye Ekitukuvu, Omukama mu Ggulu mwe muli Entebe ye. Amaaso ge gatunuulira, Ebisige bye byekkaanya nnyo abaana b’abantu. _Ekidd: *Abatereevu baliraba Amaaso go, Ayi Mukama.*_ Omukama awenja omulungi n’omubi, oli ayagala ekibi, oyo omutima gwe gwe gukyawa. Kubanga Omukama Mutuufu ayagala obutuufu, abatereevu baliraba Amaaso ge. _Ekidd: *Abatereevu baliraba Amaaso go, Ayi Mukama.*_ *OKWANIRIZA EVANJIRI* _Ekidd: *Allelluya Allelluya*_ Ndibatumira Mwoyo wa Mazima, Omukama bw’agamba. Alibayigiriza buli kya mazima kyonna. _Ekidd: *Allelluya Allelluya*_ *EVANJIRI* _Omuyigiriza oyo ye wuuyo akakasa bino, era ye yabiwandiika by’akakasa bya mazima._ *Ebigambo by’Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Yowanna 21: 20-25* Mu budde buli, Petero n’akebuka, n’alaba Omuyigirizwa ajja agoberera, ye oli Yezu gwe yali aganzizza, era ye wuuyo eyeesigama ku Kifuba kye ku Mbaga eri, n’amugamba nti: Ssebo, ani agenda okukuwaayo? Petero bwe yamulaba, n’agamba Yezu nti: Ssebo, ng’ono, aliba atya? Yezu n’amugamba nti: Ofaayo ki? Oba nga nze njagala abeerewo okutuuka lwe ndijja? Ggwe ngoberera! We waava olugambo okubuna mu b’oluganda nti: Omuyigirizwa oyo si wa kufa. Sso Yezu tiyamugamba nti: Si wa kufa; wabula nti: Ofaayo ki? Obanga nze njagala abeerewo okutuuka lwe ndijja! Omuyigirizwa oyo ye wuuyo akakasa bino, era ye yabiwandiika, tumanyi nga bwe biri bityo nga bw’abyogera; by’akakasa bya mazima. Eriyo ebirala bingi Yezu bye yakola; nabyo singa biwandiikibwa kinna kimu, sirowooza ng’ebitabo bye bandiwandiise, byandiggweredde mu nsi! _Ebyo Omukama yabyogera._
🙏 5

Comments