
DAILY CATHOLICS MASS READINGS
June 9, 2025 at 04:37 AM
*KAZOOBA (LWAKUSOOKA), 09 SSEBAASEKA, 2025*
*LWA BIIKIRA MARIYA OMUBEEREREVU NNYINA W'EKELEZIYA.*
*ESSOMO ERISOOKA*
_Katonda yamugoba mu nnimiro y’Edeni, okulima ettaka lye yali aggyiddwamu._
*Bye tusoma mu Kitabo ky’Amasooka 3: 9-15, 20.*
Omukama Katonda n’ayita omusajja n’abuuza nti: Oli wa? N’addamu, nti: Mpulidde Eddoboozi lyo mu nnimiro nentya kuba mbadde bwereere, kye nvudde nneekweka. Namubuuza, nti: Ani akubuulidde ng’oli bwereere? Olidde ku muti gwe nnakugaana okulyako? Omusajja n’addamu, nti: Omukazi gwe wassa awamu nange y’ampadde ekibala ne nkirya.
Awo Omukama Katonda n’abuuza omukazi, nti: Kiki ky’okoze? Omukazi n’addamu, nti: Omusota gwankemye nendya. Awo Omukama Katonda n’agamba omusota, nti: Kubanga okoze kino: Okolimiddwa okukira ente zonna n’ebisolo byonna eby’omu ttale. Oneewalulanga ku lubuto lwo n’olya enfuufu ennaku zonna ez’obulamu bwo. Ndibafuula balabe na balabe, ggwe n’omukazi, ezzadde lyo n’ezzadde lye. Lirikubetenta omutwe, naawe olibojja ekisinziiro kyalyo.
N’agamba omukazi, nti: Ndyongera obulumi bwo mu kuzaala, onoozaalanga abaana bo mu bulumi. Onoobeeranga mu buyinza bwa balo ate era anaakufuganga.
N’agamba omusajja, nti: Kubanga owulirizza eddoboozi lya mukazi wo n’olya ku muti gwe nali nkugaanyi okulyako: Ettaka likolimiddwa okubeera ggwe. Olitegana nnyo okulifunamu emmere ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu. Linaakumerezanga amaggwa n’amatovu, onoolyanga bimera bya mu ttale. Onoolyanga omugaati gwo ng’entuuyo zikuttulukuse, okutuuka lw’olidda mu ttaka nga bwe waliggyibwamu. Kubanga oli nfuufu ate mu nfuufu mw’olidda.
Omukama Katonda n’akolera omukazi n’omusajja ebyambalo mu maliba ne babyambala.
Omusajja n’atuuma mukazi we Eva, kubanga ye yafuuka nnyina w’abalamu bonna.
_Ebyo Omukama yabyogera._
*OLUYIMBA OLW’OKWEBUULIRIRA Zab. 87: 1-2, 3 & 5, 6-7*
_Ekiddibwamu: *Ebikwogerwako bya kitiibwa, ayi Kibuga kya Katonda.*_
Emisingi gyakyo wagissa ku Lusozi Olutukuvu. Omukama ayagala emiryango gya Siyoni okusinga ebisulo byonna ebya Yakobo.
_Ekidd: *Ebikwogerwako bya kitiibwa, ayi Kibuga kya Katonda.*_
Ebikwogerwako bya kitiibwa, ayi Kibuga kya Katonda. Ne Siyoni balimwogerako nti: Ono n’oli bazaalibwa omwo.
_Ekidd: *Ebikwogerwako bya kitiibwa, ayi Kibuga kya Katonda.*_
Ali Waggulu ddala ye yakinywezaawo. Omukama aliwandiika mu kitabo ky’amawanga: Ono azaalibwa omwo, bayimba nga bakooloobya nti: Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.
_Ekidd: *Ebikwogerwako bya kitiibwa, ayi Kibuga kya Katonda.*_
*EVANJIRI*
*Ebigambo by’Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Yowanna 19: 25-34*
Okumpi n’Omusaalaba gwa Yezu waali wayimiriddewo Nnyina ne muganda wa Nnyina, Mariya muka Kelewofa, ne Mariya Mangadalena. Yezu bwe yalaba Nnyina n’Omuyigirizwa gwe yali aganzizza ng’ayimiridde awo kumpi, n’agamba Nnyina nti: Mukazi, omwana wo wuuno! Ate n’agamba Omuyigirizwa nti: “Nnyoko wuuno!” Okuva mu kaseera ako Omuyigirizwa n’amutwala ewuwe.
Oluvannyuma lw’ebyo, Yezu ng’ategedde nga byonna biwedde, olw’okutuukiriza Ebiwandiiko, n’agamba nti: “Ennyonta ennuma.” Awo waaliwo ebbakuli ejjudde enkaatu; ne batunga ekyaangwe ekijjudde enkaatu ku lumuli, ne bakisembeza ku mumwa gwe. Yezu bwe yamala okunywa enkaatu, n’agamba nti: Bituukiridde, n’awunzika omutwe gwe, n’awaayo omwoyo gwe.
Naye kubanga olunaku lwali lwa kuteekateeka (Pasika), emirambo obutasigala ku musaalaba ku Sabbato, anti olwa Sabbato eyo lwali lukulu nnyo, Abayudaaya ne basaba Pilato abakomerere babamenye amagulu, babawanule. Abaserikale ne bajja, ne bamenya amagulu ag’omuberyeberye n’ag’omulala eyali akomereddwa naye. Bwe baatuuka ku Yezu, ne balaba nga yafudde dda; ne batamumenya magulu; naye omu ku baserikale n’amufumita effumu mu lubirizi, amangu ago ne muvaamu Omusaayi n’Amazzi.
_Ebyo Omukama yabyogera._
🙏
4