DAILY  CATHOLICS MASS READINGS
DAILY CATHOLICS MASS READINGS
June 12, 2025 at 05:01 AM
*KIWANUKA (LWAKUNA), 12 SSEBAASEKA, 2025* *LWAKUNA OLWA WIIKI EY'EKKUMI MU BUDDE: OBW'OMWAKA C.* *ESSOMO ERISOOKA* _Katonda aleeta ekitangaala mu mitima gyaffe, tutangalijjiremu ekitangaala eky’okumanya Ekitiibwa kya Katonda._ *Bye tusoma mu Bbaluwa Eyokubiri Pawulo Omutume gye yawandiikira ab’e Korinti 3: 15—4: 1, 3-6.* Ab’oluganda, na kaakati: bwe basoma Musa, omutima gwabwe mubikke n’ekiremba. Tikijja kubavaako okutuusa lwe balidda eri Omukama. Omukama oyo, Mwoyo; awabeera Mwoyo w’Omukama, we waba eddembe. Sso ffe, amaaso gaffe simabikekko; okwakaayakana kw’Omukama kulabikiramu nga bw’olaba mu ndabirwamu; ffenna ne tugenda nga tweyongera okutangalijja, olw’okugenda nga tufuuka ng’oyo alabikira mu ffe. Ekyo Omukama abeera Mwoyo, ky’akola. Katonda yamala okutukwasa omulimo guno olw’ekisa kye, tugussaako essira. Oba Evanjiri yaffe ekyabikkiriddwa, ab’okuzikirira b’ebeerera embikke: be bo abatakkiriza; Lubaale w’ensi eno be yaziba amaaso n’abagaana okulaba ekitangaala ekireetebwa Amawulire Agasanyusa ag’Ekitiibwa kya Kristu, abeera ekifaananyi kya Katonda. Sitweraalaasa ffe ffennyini; tulaalaasa Yezu Kristu nti: Ye Mukama; ate ffe tuli baweereza bammwe ku bwa Yezu. Katonda Oyo yennyini eyalagira ekitangaala okufubutuka mu nzikiza ne kyaka, ye Oyo aleeta ekitangaala mu mitima gyaffe, mutangalijjiremu ekitangaala eky’okumanya Ekitiibwa kya Katonda, ekitiibwa eky’oku Maaso ga Yezu.   _Ebyo Omukama yabyogera._   *OLUYIMBA OLW'OKWEBUULIRIRA: Zab 85: 9ab-10, 11-12, 13-14.* _Ekiddibwamu: *Ekitiibwa ky’Omukama kibeera mu nsi yaffe.*_   Ka mpulire Omukama Katonda ky’agamba, mazima ayogera bya ddembe. Mazima abamutya, okulokoka tikubaba wala, Ekitiibwa kye ne kibeera mu nsi yaffe. _Ekidd: *Ekitiibwa ky’Omukama kibeera mu nsi yaffe.*_ Okusaasira n’obwesige birisisinkana, obutuufu n’eddembe birinywegeragana. Obwesige bulitutunuka mu nsi, n’obutuufu buliyima mu Ggulu ne butunula. _Ekidd: *Ekitiibwa ky’Omukama kibeera mu nsi yaffe.*_ Omukama yennyini aligaba ebirungi, n’ensi yaffe erireeta ekibala kyayo. Obutuufu bulitambulira awo mu maaso, n’obulokofu mu kkubo ly’ebisinde bye.   _Ekidd: *Ekitiibwa ky’Omukama kibeera mu nsi yaffe.*_ *OKWANIRIZA EVANJIRI* _Ekidd: *Alleluya, Allelluya.*_ Ekigambo kya Katonda timukiyisa ng’eky’abantu obuntu, naye nga bwe kiri mu mazima mukiyise ng’ekya Katonda yennyini. _Ekidd: *Alleluya, Allelluya.*_   *EVANJIRI* _Buli asunguwalira muganda we, wa kusalirwa omusango._ *Ebigambo by’Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Matayo 5: 20-26.* Mu budde buli, Yezu yagamba Abayigirizwa be nti: Obutuukirivu bwammwe bwe butalikira bwa Bawandiisi n’Abafarisaayo, timuliyingira mu Bwakabaka bwa mu Ggulu. Mwawulira ng’ab’edda babagamba nti: Tottanga; alitta alisalirwa omusango. Naye nze mbagamba nti: Buli yenna alisunguwalira muganda we alisalirwa omusango. Aligamba muganda we nti “Raka” alisalirwa omusango mu Lukiiko. Ate aligamba muganda we nti: “mulalulalu,” alisalirwa omusango gw’omuliro gwa Gehenna. Awo nno, obanga otwala ekirabo kyo ku Altari, n’ojjukirira eyo nga muganda wo akuliko ekigambo, leka awo ekirabo kyo mu maaso ga Altari, osooke ogende otabagane ne muganda wo; awo olyoke odde oweeyo ekirabo kyo. Tabagana mangu ne gw’owoza naye nga mukyali mu kkubo; gw’owoza naye aleme kukutwala wa Mulamuzi; Omulamuzi aleme kukuwa Muserikale kukutwala mu kkomera. Mazima, ka nkubuulire: tolivaamu, okutuusa lw’olimala okuliwa byonna, newandibadde akasimbi akamu. _Ebyo Omukama yabyogera._
🙏 5

Comments