
DAILY CATHOLICS MASS READINGS
June 17, 2025 at 05:44 AM
*WALUMBE (LWAKUBIRI), 17 SSEBAASEKA, 2025*
*WIIKI EYEKKUMI N’EMU MU BUDDE: OBW’OMWAKA C.*
*ESSOMO ERISOOKA*
_Kristu yeefuula omwavu okubeera mmwe_
*Bye tusoma mu Bbaluwa Eyokubiri Pawulo Omutume gye yawandiikira ab’e Korinti 8: 1-9*
Ab’oluganda, ka mbabuulire enneema ya Katonda Ekeleziya z’e Masedoniya gye zaafuna: Ebizibu bye baalimu mu kulumwa, ne basigala nga basanyufu, ssaako obwavu bwabwe obuyitirivu, ebyo byabatuusa ku kugaba ebitalojjeka. Sibalimbamu: tibaawa kye basobola kyokka; baayitiriza na nnyo, ate nga baggya mu mutima. Baatwegayirira nnyo nga batwesengereza nabo babeeko ke boongerako ku by’okudduukirira abatuukirivu. Ekyali kitalindiriddwa: bo bennyini baasookera ku kwewa Katonda; nga bali mu Katonda ne balyoka batwewa, ku lw’okwagala kwa Katonda. Kye twava tusaba Tito nga bwe yatandika, omulimo guno ogw’ekisa agumalirize mu mmwe mu ngeri emu nga mu bali. Mutendebwa nnyo mu Kukkiriza, mu njogera ennungi, mu kumanya, mu kujjumbira okwa buli ngeri, mu kwagala kwe mwaggya mu ffe; ne mu kino nno eky’okwagala wabulewo abawa omutwe. Lwakwogera, naye sibalagira bulagizi. Njagala kulaba nti: Nga mulabye okujjumbira okw’abalala, mmwe munaaba n’okwagala kwennyini. Mumanyi bulungi omutima omugabi ogwa Yezu Kristu: anti ye yava mu bugagga n’afuuka omwavu olw’okubeera mmwe, obwavu bwe bulyoke bubafuule abagagga.
_Ebyo Omukama yabyogera._
*OLUYIMBA OLW’OKWEBUULIRIRA: Zab 146: 2, 5-6ab, 6c-7, 8-9a.*
_Ekiddibwamu: *Mwoyo gwange tendereza Omukama.*_
Omukama ndimutendereza obulamu bwange bwonna. Ebbanga lyonna nga nkyaliwo, ndiyimbira Katonda wange ku ntongooli.
_Ekidd: *Mwoyo gwange tendereza Omukama.*_
Yeesiimye Katonda wa Yakobo gw’ayamba, asuubira mu Mukama Katonda we. Eyakola Eggulu n’ensi ennyanja na byonna ebigirimu.
_Ekidd: *Mwoyo gwange tendereza Omukama.*_
Akuuma obwesige emirembe gyonna, n’ataasa abanyigiriziddwa. Abayala n’abawa omugaati, Omukama asumulula abasibe.
_Ekidd: *Mwoyo gwange tendereza Omukama.*_
Omukama azibula amaaso ga ba muzibe, Omukama abeegose abawa okwesimba. Omukama akuuma abalamazi, awanirira Enfuuzi ne Nnamwandu.
_Ekidd: *Mwoyo gwange tendereza Omukama.*_
*OKWANIRIZA EVANJIRI*
_Ekidd: *Alleluya, Alleluya*_
Katonda yaggya mu ye n’atuzaala n’Ekigambo ky’amazima ng’ayagala mu bitonde bye, ffe tuba tubeera ebibala ebiberyeberye.
_Ekidd: *Alleluya, Alleluya*_
*EVANJIRI*
_Mwagale abalabe bammwe._
*Ebigambo by’Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Matayo 5: 43-48.*
Mu budde buli, Yezu yagamba Abayigirizwa be nti: Mwawulira bwe baabagamba nti: Oyagalanga munno, n’okyawa omulabe wo. Naye nze mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, mukolere bulungi ababakyaye, musabirenga ababayigganya; lwe mulibeera abaana ba Kitammwe ali mu Ggulu, ayasiza enjuba ye abalungi n’ababi, n’atonnyeseza enkuba ye abatuukirivu n’abatali.
Obanga mwagala ababaagala bokka, mulifuna mpeera ki? Abapubulikano nabo si bwe bakola? Obanga mulamusa baganda bammwe bokka, kye musinza abalala kiri wa? N’Abakafiiri si bwe bakola! Awo nno mubeerenga batuukirivu nga Kitammwe ow’omu Ggulu bw’ali Omutuukirivu.
_Ebyo Omukama yabyogera._
*OKWEBUULIRIRA KU KIGAMBO KYA KATONDA.*
_Omulamwa: *Kye tusinza abalala kwe kutambulira mu kkubo ly’ekisa n’okwagala.*_
Mu Ndagaano Empya, Mukama waffe Yezu Kristu yeeyoleka nga mu Ye ebiragiro by’omu ttteeka lya Musa ebyalimu ebirumira mwe bitereezebwa okujjayo ekyo Patri kye yagenderera; eky’okulabirako kye tuweereddwa mu Vannjiri leero; Yezu atereeza etteeka ly’okuwoolera eggwanga eri balabe baffe n’abo abatukolera obubi.
Etteeka eryali liragira okukyawa n’okusanyawo balabe, alizza buggya n’alisikiza etteeka ly’okwagala: _“Naye nze mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, mukolere bulungi ababakyaye, musabire ababayigganya.”_
Abo abatambulira mu tteeka ly’okwagala, baggyayo ekifaananyi ekituufu eky’ekisa n’okwagala Kitaffe kw’atulinako; kubanga Ye agirira ekisa abantu bonna awatali kwawulamu: _“ayasiza enjuba ye abalungi n’ababi, atonnyeseza enkuba ye abatuukirivu n’abatali.”_
Ekkubo lino Yezu ly’atwoleka, tulina obusobozi okusalawo okulitambuliramu, ate litufunyisa empeera, anti amaanyi g’okulitambuliramu gasibuka mu Ggulu; Mukama waffe Yezu Kristu yennyini y’atuwa enneema naffe etusobozesa okumufaanana mu kwagala n’ekisa eri abalala naddala abo be tukaluubirirwa okwagala.
Ekkubo Mukama waffe Yezu Kristu ly’atuyita okugoberera lirimu okusalawo okw’omuggundu, obutafaanana ng’abalala: _“obanga mulamusa baganda bammwe bokka, kye musinza abalala kiruwa?”_ Kristu atuwa ekiragiro, kye tuteekwa okusooka okutuusa tulyoke tubalirwe mu Bayigirizwa be.
Buli lwe ntuusa ekiragiro kino ekiggya eky’okwagala, nze ŋŋanyulwamu kubanga nzira buggya, ne nfuuka omulongoofu mu mutima; lino ly’ekkubo ekkakafu erireetawo okudda obuggya munda ne nfuna emirembe mu nze, ate ne mu bannange naddala abo be mbadde ninako obukyayi, kyokka olw’okubaddiramu nga mbasabira ate n’okubasonyiwa; obulamu bwa Katonda bubukala mu ffe.
_Ayi Mukama Yezu Kristu, nkwebaza okunkwatirwa ekisa nze omwonoonyi n’okunziriramu buli lwe neenenya, nnyamba ntuuse etteeka lyo ate nga kiragiro eky’okwagala; njoleke bulijjo ekisa kyo eri bannange nga mbeera wa kisa gye bali, anti nange onkwatirwa ekisa entakera. Amiina ._
🙏
😂
6