BUGANDA YOUTH COUNCIL GGOMBOLOLA MAKINDYE MUT III
BUGANDA YOUTH COUNCIL GGOMBOLOLA MAKINDYE MUT III
June 15, 2025 at 08:33 AM
*AGOOKYA MU BYC SSAZA KYADDONDO .* Olunaku lw'abavubuka mu Kyaddondo luyiindide ku mbuga y'essaza era Oweek Israel Kazibwe Kitooke minisita wa Mawulire n’okukunga abantu mu bwakabaka yabadde omugenyi omukulu nga yayaniriziddwa abamyuka ba kaggo Oweek.Dr Fiona Kalinda ne Oweek. Ronald Mpagi awamu n'Omw Muddu Thomas akulira ekitongole ky’abavubuka ku ssaza Minisita yakubirizza abavubuka okwekiririzamu era okubeera endabirwaamu y'obuweereza obwo bwerufu mu bwakabaka kiwe banaabwe okwagala okubeegatako mu kaweefube w'okuzza Buganda ku ntikko. Kaggo akubirizza abavubuka okukunga banaabwe abegattira mu bibiina ebyenjawulo okujjumbira obuwereeza era bajje ku kisaawe e Nakivubo ku lw’okuna nga 19 Ssebaaseka 2025 okuwagira Tiimu ya kyaddondo nga etongozebwa mu kisaawe kya Ham e Nakivubo nga ky'ekisaawe ky'essaza omwaka guno. Ba Ssentebe ba BYC mu ggombolola ezenjawulo babadewo awamu n'abakulembeze ba Nkobazambogo mu Buganda baweeseza omukolo ekitiibwa Abavubuka basiimidwa nga baweebwa amabaluwa era Ssentebe waabwe naaba kubiriza buli omu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, awo olukiiko lwa BYC lubeere etabaaza y'obukulembeze obw'ensa mu ssaza lino. OWAMAWULIRE BYC MAKINDYE MUT III GGOMBOLOLA, OWAMAWULIRE BYC SSAZA KYADDONDO

Comments