
BUGANDA YOUTH COUNCIL GGOMBOLOLA MAKINDYE MUT III
June 18, 2025 at 06:38 PM
*OBUBAKA OBUKUBIRIZA ABAVUBUKA OKWETABA MU KULONDA ABAKULEMBEZE B'ABAVUBUKA KU MITENDERA EGYENJAWULO*
Mbalamusizza nnyo abavubuka.
Ntwala omukisa guno okubakubiriza okwetaba mu nteekateeka y'okulonda abavubuka abagenda otukulembera ku mitendera egyenjawulo mu Gavumenti eya wakati(Central Government).
Mbasaba mulonde abavubuka ab'ensa, abalina obuntubulamu n'obwerufu ate okusingira ddala nga bassaamu Namulondo ekitiibwa ate nga bategeera Ensonga Ssemasonga eza Buganda.
Okulonda ddembe erituweebwa Ssemateeka era buvunanyizibwa bwaffe okulonda abakulembeze n'olwekyo mbakunga mwetabe mu nteekateeka eno kitusobozese okufuna abakulembeze abagenda okutwala ensi yaffe mu maaso.
Mbasaba mukuume emirembe, empisa era tunyweze obumu nga Ssaabasajja Kabaka bwatulagira buli kiseera.
Nsaba Katonda abankumire.
Ssaabasajja Kabaka Awangaale.
*Derrick Kavuma*
Ssentebe w'Abavubuka mu Buganda.
